Psalms 18:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebiwonvu by'ennyanja ne byeyerula, emisingi gy'enkulungo y'ensi ne girabika, bwe waboggola, Mukama, omukka gw'omu mivumbo gyo bwe gwafuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu, n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yasinziira mu ggulu, n'ankwata, N'anzigya mu mazzi amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yasinziira mu ggulu n'agolola omukono gwe n'ankwata, n'anzigya mu mazzi amangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi.