Psalms 18:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagamba nti: “Nkwagala, ayi Mukama, amaanyi gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola. Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga. Ye ngabo yange, ge maanyi ag'obulokozi bwange, ye yankuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye ankuuma, ye antaasa era ye andokola. Katonda wange kye kiddukiro kyange, ye antaasa ng'engabo, ye wa maanyi andokola n'ankuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.