Psalms 18:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mutukuvu weeraga bw'oli omutukuvu; ku mwonoonefu weeraga bw'oli omukalabakalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owonya abawombeefu, naye abeegulumiza obakkakkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga onoolokolanga abantu, abajoogebwa, Naye nootoowaza abo abeekulumbaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olokola abo abanyoomebwa, naye otoowaza abeekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga.