Psalms 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olokola abatene, naye otoowaza abo ab'amaaso ageekuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okoleezezza ettaala yange; Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe ompa ekitangaala, Mukama Katonda wange n'omulisa mu kizikiza kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda wange, ompa ekitangaala, n'ongobako ekizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.