Psalms 18:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ettawaaza yange ggwe ogikuuma ng'eyaka; Omukama atangaaza enzikiza yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange; nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe onnyamba okulumba abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe onnyamba okulumba eggye ly'abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.