Psalms 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga ndi naawe, n'eggye ndirumba, Nga ndi ne Katonda wange mpalampa ne bbugwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda byonna by’akola bigolokofu; Mukama ky’asuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bw’abo bonna abamwekwekamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, Ekigambo kya Mukama kya mazima, Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.