Psalms 18:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalekaana, ne wabula abalokola; baawanjagira Omukama, kyokka teyabaddamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula; ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu etwalibwa empewo, ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo.