Psalms 18:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabamerengula ng'enfuufu efuuyibwa empewo, ne mbafukumula eri ng'ebitoomi by'omu kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu; n’onfuula omufuzi w’amawanga. Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omponyezza okwegugunga kw'abantu; Onfudde omufuzi w'amawanga. Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omponyezza okwegugunga kw'abantu, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be saamanyanga balimpeereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.