Psalms 18:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wamponya ennyombo z'abantu bange, wanzisaawo ng'omutwe gwa mawanga; abantu be nali simanyi bampeereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olumpulira ne baŋŋondera, bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera. Bannaggwanga balinjeemulukukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amawanga amalala balinfukaamirira, oluliwulira ebigambo byange baliŋŋondera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira.