Psalms 18:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ayi Mukama; ndiyimbira erinnya lyo ettendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi, amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’eri ezzadde lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanguzi abuwadde kabaka we, Era amukoledde eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda gw'awadde obwakabaka amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.