Psalms 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emiguwa gy'emagombe gyanneezingirira, emitego gy'okufa gyali ginnindiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu Yeekaalu ye, Bye nnakaabira mu maaso ge naabiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange okunnyamba. Yawulira eddoboozi lyange mu Ssinzizo lye, n'awuliriza bwe namusaba annyambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.