Psalms 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ensi yayuuga n'ekankana, emisingi gy'ensozi ne giyuuguuma, ne gikubagana kubanga yali asunguwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze. Omuliro ne guva mu kamwa ke, ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, Omuliro ogusenkenya n'amanda agaaka, Ne biva mu kamwa ke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukka gwanyooka mu nnyindo ze, omuliro ogusenkenya era n'amanda agaaka ne biva mu kamwa ke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda.