Psalms 19:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya Omukama kutukuvu, kusigalawo emirembe gyonna; amateeka g'Omukama ga mazima, gonna wamu matuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bisaanira okubiyaayaanira okusinga zaabu, zaabu omulungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bisaanye okuyaayanirwa okusinga zaabu akira obulungi. Biwoomerevu okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.