Psalms 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani asobola okutegeera ensobi ze? Nsonyiwa ensobi zange enkusike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere, bireme kunfuga. Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze omuddu wo onziggye mu bujeemu bwonna, Buleme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, Omusango ogw'okwonoona guleme okumbaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze omuweereza wo mponya okwekulumbaza kulemenga okunfuga. Bwe ntyo mbe nga siriiko kye nvunaanibwa, nga sirina musango munene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga.