Psalms 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiyigirizibwa Omukama bituukirivu, bisanyula omutima, ekiragiro ky'Omukama kitangaavu, kimulisa amaaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutya Mukama kulungi, kusigalawo emirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya mazima, bya butuukirivu ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okussaamu Mukama ekitiibwa kulungi, kusigalawo emirembe n'emirembe. Ensala Mukama gy'asalamu emisango, ya mazima era ntuufu ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala: