Psalms 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikulwa ng'asunguwala ne musaanyizibwawo mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe butumbuka mangu. Beesiimye bonna abaddukira gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munywegere omwana, aleme okusunguwala, si kulwa nga muzikirizibwa, Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Ba mukisa abo bonna abamweyuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
sikulwa ng'asunguwala ne muzikirira. Obusungu bwe tebulwa kusituka. Ba mukisa abo bonna abamweyuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.