Psalms 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akuwe omutima gwo bye gwegomba, era atuukirize buli ky'oteesa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuleekaane olw'essanyu ng'owangudde. Mu linnya lya Katonda waffe tuwanike ebendera zaffe. Mukama akuwe by'osaba byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuleekane olw'essanyu ng'owangudde, tuwanike ebbendera zaffe nga tutendereza Mukama. Mukama akuwe byonna by'osaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunaawangulanga mu bulokozi bwo, Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe: Mukama atuukirizenga by'osaba byonna.