Psalms 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tulisagambiza n'essanyu ng'owangudde; tulisitula bendera mu linnya lya Katonda waffe. Omukama akuwe byonna by'omusaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba oyo gwe yasiiga amafuta; Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba omusiige we. Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu. Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta; Alimuddamu ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu N'obulokozi obuwonya obw'omukono gwe ogwa ddyo.