Psalms 20:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati mmanyi ng'Omukama ajja kuwonya omusiige we, amwanukula ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu, n'amaanyi ag'obuwanguzi aga ddyo we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu beesiga amagaali, abalala beesiga embalaasi. Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu beesiga magaali, abalala beesiga mbalaasi. Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.