Psalms 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu beewaanira mu bigaali n'abalala mu mbalaasi, naye ffe tukowoola linnya lya Mukama Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abo balineguka ne bagwa, Naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo balineguka ne bagwa, naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakutamye bo ne bagwa: Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira.