Psalms 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go. Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maanyi go, ayi Mukama, Kabaka asanyuka, Akugulumiza nnyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka asanyuka, ayi Mukama, kubanga omuwadde amaanyi. Asanyuka nnyo, kubanga omuyambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!