Psalms 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lw'olyoleka amaaso go, olibakasuka mu kabiga akanyooka; Mu busungu bwe Omukama alibamira, n'omuliro gulibasenkenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi, n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana baabwe olibazikiriza ku nsi, N'obamalirawo ddala mu baana b'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana n'abazzukulu baabwe kabaka alibatta, n'abamalirawo ddala ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu.