Psalms 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, kabaka asanyukira mu maanyi go. Nga musanyufu nnyo olw'obuwanguzi bw'owa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga, era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuyambye okuwangula. So tomummye ye yennyini ky'akusabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwadde bye yeegomba, tomummye ye yennyini ky'akusabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)