Psalms 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala wamuwa omukisa ogw'emirembe gyonna, n'omusanyusa n'essanyu ly'amaaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kabaka yeesiga Mukama, era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo, kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka yeesiga Mukama, era olw'ekisa ky'oyo Atenkanika, ye taasagaasaganenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.