Psalms 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olirabika, Ayi Mukama, olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde. Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'alirabika, balikoleera ne baaka ng'omuliro gw'ekikoomi. Mukama alibasaanyaawo, n'omuliro gulibasenkenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.