Psalms 22:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Empeewo y'oku Mmambya'. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki ogaana okunnyamba wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okunneesamba n'otonnyamba, n'otowulira kukaaba kwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki onneesuula n'otonnyamba, era n'otowulira kukaaba kwange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?