Psalms 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Seddume ennyingi zinneetoolodde, Zisseddume z'e Basani zinneebunguludde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banjasamiza akamwa kaabwe ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaamye ewuluguma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banjasamiza akamwa kaabwe ng'empologoma etaamye, ewuluguma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.