Psalms 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embwa zinneebunguludde, ekibondo ky'ababi kinzingizza, emikono gyange n'ebigere byange babiwumuggudde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala. Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyinza okubala amagumba gange gonna. Bantunuulira, banvulumulira amaaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagumba gange gonna galabika, bantunuulira ne banvulumulira amaaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso: