Psalms 22:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndirangirira erinnya lyo mu baganda bange; ndikutendereza mu kibiina wakati:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga. Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abassaamu Mukama ekitiibwa mumutendereze, bazzukulu ba Yakobo mwenna, mugulumize Mukama, abantu ba Yisirayeli mwenna, mumusseemu ekitiibwa;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.