Psalms 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abatya Omukama, mumutendereze. Mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumize, mumutye, mwenna ezzadde lya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tanyooma kwaziirana kw’abo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga teyanyooma, oba obutamufaako oyo ali mu buyinike, Wadde okumukuba amabega. Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga teyanyooma munaku, oba obutamufaako mu buyinike bwe, wadde okumukuba amabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.