Psalms 22:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti teyanyooma, yadde okwenyinyala obunaku bw'omunkuseere; amaaso ge teyagamukweka, bwe yamuwanjagira, yamuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde. Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abakutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Bye neeyama nja kubituukiriza mu maaso g'abakussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.