Psalms 22:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ewuwo y'eva ettendo lyange mu lukuŋŋaana olukulu; bye neetema nzija kubituukiriza mu maaso g'abamutya bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaavu banaalyanga ne bakkuta, abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga. Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaavu balirya ne bakkuta, Abanoonya Mukama balimutendereza, Babeerenga balamu emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaavu balirya ne bakkuta, abanoonya Mukama balimutendereza, babeerenga balamu bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.