Psalms 22:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obufuzi bwa Mukama; ye y'afuga amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza. Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira, abatakyali balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abeekulumbaza ab'ensi balimuvuunamira, ne bamusinza. N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abeekulumbaza balimuvuunamira, n'abo bonna ab'okudda mu nfuufu balimufukaamirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.