Psalms 22:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abagalamidde mu ttaka yekka gwe balivunnamira, bonna abakkirira mu nfuufu, balikuba amavi mu maaso ge, abo abatakyasobola kwebeezaawo nga balamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezadde lyabwe lirimuweereza; abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana abazaalibwa balimuweereza, Abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana abalizaalibwa balimuweereza, abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.