Psalms 22:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazzukulu baliweereza Omukama, balinyumya ku Mukama eri ezzadde erijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo abatannazaalibwa balibuulirwa obutuukirivu bwe nti, “Ekyo yakikoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balibuulira obulokozi bwa Mukama, Abantu abalizaalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abatannazaalibwa balibuulirwa nti: “Mukama yalokola abantu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola: