Psalms 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe nnaatambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza, sitya kabi, kubanga ggwe oli nange; omuggo gwo n'oluga binkubagiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte ekizikiza, sirina kabi ke ntya, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binkuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.