Psalms 23:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala obulungi n'ekisa biringoberera ennaku zonna ez'obulamu bwange; nnaasulanga mu nnyumba y'Omukama, emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulungi n'ekisa kyo binaabanga nange ennaku zonna ez'obulamu bwange. Nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala obulungi bwo n'ekisa kyo biriba nange obulamu bwange bwonna. Nnaabeeranga mu Nnyumba ya Mukama bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.