Psalms 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya Dawudi. Zabbuli. Ensi ya Mukama na byonna ebigijjuza enkulungo y'ensi na bonna abagisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ya Mukama, n'ebigirimu byonna, Ensi yonna, n'abo abagirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi n'ebigirimu byonna bya Mukama, ensi yonna yiye era ne bonna abagiriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu.