Psalms 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ly'eryo ezzadde ly'abamunoonya, ery'abanoonya amaaso go, ayi Katonda wa Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ayi Katonda wa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abali ng'oyo be bakunoonya, be baagala okukulaba, ayi Katonda wa Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)