Psalms 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakubo g'Omukama kisa na bwesigwa eri abo abakuuma endagaano ye n'ebiragiro bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abatuukiriza endagaano ye n'ebiragiro bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Engeri Mukama gy'akwatamu abo abatuukiriza endagaano ye ne bye yalagira, ya kisa era ya bwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe: