Psalms 25:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu atya Omukama y'aluwa? Alimuyigiriza ekkubo ly'aba alondawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu wa ngeri ki atya Katonda? Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'agwanira okukwata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu assaamu Mukama ekitiibwa, Mukama gw'anaalaganga ekkubo ly'agwanira okukwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.