Psalms 25:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gange bulijjo gali ku Mukama, kubanga ye yekka aliggya ebigere byange mu mutego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntunuulira Mukama buli kiseera, kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna, Kubanga ye yaggya ebigere byange mu kyambika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso gange gasimbye ku Mukama ennaku zonna, kubanga ye aggya ebigere byange mu mutego.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.