Psalms 25:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba abalabe bange bwe bali abangi! Laba bwe bankyaye n'obukambwe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi n’okunkyawa kwe bankyawamu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba abalabe bange, kubanga bangi, Era bankyawa n'obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba abalabe bange bwe benkana obungi, laba nga bwe bankyawa ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe.