Psalms 25:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bonna abasuubira mu ggwe tebaliswala; naye abo abadyeka awatali nsonga baliswala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga, naye ab’enkwe baliswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali akulindirira aliswazibwa, Baliswazibwa abo abasala enkwe ez'obwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abakwesiga tobaleka kuswala, wabula oleka abo abeetawaanyiza obwereere nga basala enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.