Psalms 25:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, jjukira okusaasira kwo n'ekisa kyo, anti byaliwo okuva ddi na ddi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi, kubanga byava dda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira, ayi Mukama, okusaasira kwo okutaggwaawo n'ekisa kyo, Kubanga byaliwo okuva edda n'edda lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, jjukira ekisa kyo n'okwagala kwo, bye walaga okuva edda n'edda lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna.