Psalms 25:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tojjukira bibi bya mu buvubuka bwange n'emisango gyange; nzijukira ng'ekisa kyo bwe kiri, olw'okubeera obulungi bwo, ayi Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tojjukira bibi byange n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ensobi zange, Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ayi Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tojjukira bibi wadde ensobi, bye nakola mu buvubuka bwange. Naye mu kisa kyo jjukira nze, ayi ggwe Mukama omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama.