Psalms 26:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya Dawudi. Nejjeereza, ayi Mukama, kubanga natambulira mu bulungi, neesiga Omukama awatali kusagaasagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, onsalire omusango nsinge, kubanga ntambulira mu butuukirivu bwange, Era nneesiga Mukama awatali kubuusabuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nsalira omusango nsinge, kubanga sirina kibi kye nakola, era nkwesiga awatali kubuusabuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.