Psalms 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkyawa enkuŋŋaana z'abakola obubi, ababi situula nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkyawa ekibiina ky'abo abakola obubi, Era situula wamu na babi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkyawa ekibiina ky'abakola ebibi, era sikkiriza kutuula na babi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi.