Psalms 26:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyimbira waggulu ettendo lyo, ne nnyumya ebyewuunyisa byo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza. Nnaayongeranga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza era nga njogera ku byamagero by'okola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo: