Psalms 26:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tombalira mu boonoonyi, wadde obulamu bwange mu bw'abo abayiwa omusaayi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tonzikiriza wamu n'abalina ebibi, Era wamu n'abantu abatemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tonsaanyaawo na boonoonyi, obulamu bwange tobuzikiririza wamu na batemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi: